NG'OLIISA EMBIZZI GENDERERA NNYO BINO

Описание к видео NG'OLIISA EMBIZZI GENDERERA NNYO BINO

Abalunzi bangi batya okulunda embizzi nga bekwasa mbu zirya nnyo. Abalala tebaziriisa kimala oba zirya nnyo ne zikuta naye nga tezirina kiriisa kyonna kye zifunyemu. Abalala abalunzi baziriisa lumonde, muwogo, amalagala, ebikuta bya matooke ne lumonde abamu babifumba abalala tebabifumba.
Abalunzi abamu bo bagenda ku matundiro g'emmere y'embizzi naye oluusi nga tebalina bulungi nsimbi ne basoberwa eky'okola. Singa oba olina w'osobola okulima kasooli, soya, omuwemba, lumonde n'ebirala kikutaasa nnyo mu nsasaanya ya sente era ne weyagalira mu kulunda. Naye jjukira nti emmere eyo gye werimidde era nnungi ddala naye terimu biriisa byonna embizzi zo bye zetaaga. N'olw'ekyo olina okugulayo ebirungo okusobola okuliisa obulungi embizzi zo.
Ate nno mulunzi munnange, amalagala n'ebikuta n'omuddo omulala kituufu embizzi zigulya naye tegukola bulungi nnyo nga bwe gukola mu mbuzi anti embuzi yo ezza obwenkulumu embizzi kye takola. Ekyo kitegeeza nti efunamu ekiriisa kitono ddala. Embizzi okukula obulungi erina okufuna ebiriisa bino mu bipimo ebituufu ng'otabula "Vitamins, Proteins, Minerals, Carbohydrates and Water..........
Tujja genda twetegereza kalonda yenna mu kuliisa embizzi mu vidiyo ezinaddako.

Комментарии

Информация по комментариям в разработке