Aba UBOS bagamba bagonjodde ebirumira mu kubala abantu, enteekateeka erongoose

Описание к видео Aba UBOS bagamba bagonjodde ebirumira mu kubala abantu, enteekateeka erongoose

Ab'ekitongole ky'ebibalo ki Uganda Bureau of Statistics bategeezezza nga bwe bamaze okugonjoola obuvuyo obwalemesezza enteekateeka y'okubala abantu mu bitundu ebimu ku lunaku olwasoose. Eggulo abamu ku babazi b'abantu baasanze obuzibu okweyambisa ebyuuma ebikozesebwa mu kubala, okwabadde ebibuuzo wamu n’endagiriro ezibatuusa mu maka g’abantu nga kunno kwotadde n’ababazi obutaba n’ebikozesebwa. UBOS egamba nti amannya g'ababazi abaawereddwa omulimu guno tebaabadde kumukutu gwabwe wabula nga bino byonna bigonjoddwa.


#NTVNews #Akawungeezi

For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter   / ntvuganda  
Like our Facebook page   / ntvuganda  

Комментарии

Информация по комментариям в разработке