AWOZESEBWA ERA AKOMERERWA

Описание к видео AWOZESEBWA ERA AKOMERERWA

Makko 15 gwe mutima gw’emboozi y’okulumwa. Etulaga okuwozesebwa kwa Yesu, okusingisibwa kwe omusango, okukonjerwa abaserikale, Okukomererwa kwe n’oluvannyuma okufa kwe n’okuziikibwa. Ebibaawo mu ssuula eno biragibwa mu bulambulukufu obungi era obulabika, nga kino kiyinza kuba bwe kityo lwa kubanga omuwandiisi aleka ebintu eby’amazima ebibeerawo okweyogerera.

Wiiki eno, okuva mu kibuuzo kya Piraato, “Ye ggwe kabaka w’Abayudaaya?” okutuuka ku baserikale abakonjera Yesu, “Yawonyanga abalala; naye yeerokole yekka, okutuuka ku kulabika kwa Yusufu ow’e Alimasaaya okutasuubirwa, essuula eno ejjudde obulumi obutagambika kyokka buggyayo amazima ag’amaanyi agakwata ku kufa kwa Yesu na ki kye kutegeeza.

Комментарии

Информация по комментариям в разработке