Aba NUP ababadde mu nkomyo bayimbuddwa, Olivia Lutaayo awera

Описание к видео Aba NUP ababadde mu nkomyo bayimbuddwa, Olivia Lutaayo awera

Olwaleero omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asonyiye abawaguzi ba National Unity Platform 19 gyebuvuddeko abakkirize emisango gy’okusangibwa neby’okulwanyisa ebyefanyirizaako ebyabakuma ddembe , kko n’okwagala okuluka olukwe okuseketerera gavumenti efuga.Kinajjukirwa nti bano baali bawangalidde ku alimanda okuva lwebakwatibwa wakati wa November 2020 ne May 12, 2021, okutuusa lwebakkiriza emisango gyino mu October omwaka guno era nebasalirwa ekibonerezo kya myezi esatu mu nkomyo.Kati ebbaluwa y'omukulembeze we ggwanga eyimbudde bano ebadde ya mbagirawo era bonna wetwogerera balya butaala.
#NTVNews #Akawungeezi

For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter   / ntvuganda  
Like our Facebook page   / ntvuganda  

Комментарии

Информация по комментариям в разработке