Ekimu ku bizibu ebiremesa abaana abaliko obulemu okusoma

Описание к видео Ekimu ku bizibu ebiremesa abaana abaliko obulemu okusoma

Ekimu ku bizibu ebiremesa abaana abaliko obulemu okusoma obulungi, y’enjala olw’obutafuna byakulya bimala.

Abalabirira abaana abaliko obulemu bagamba bangi ku baana bano bava awaka nga tebafunye kyakulya nebagenda ku somero ng'eno gyebafuna omukisa gw'okulya eky’emisana.

Kati embeera eno yewalirizza ab'ekibiina ekitaba abantu abaliko obulemu ki National Union of Disabled Persons in Uganda [NUDIPU] okutandikawo enteekateeka ey'okulaba nga abaana bano bafuna emmere ebamala.

Комментарии

Информация по комментариям в разработке