Lukwago asisinkanye aba NEMA ku ky’abalindiridde okusengulwa

Описание к видео Lukwago asisinkanye aba NEMA ku ky’abalindiridde okusengulwa

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi ki NEMA kirangiridde nti ennyumba 214 ze zaamenyebwa mu lutobazi lwa Lubigi mu kikwekweto kye baaliko okusengula abo abaalwesenzaamu.Okusinzira ku NEMA, olutobazi luno luliko obugazi bwa yiika 1,721 Kyoka nti wasigadde 481 zokka ezitanesenzebwaamu, kale nga balagidde buli muntu awangaalira mu ntobazi okwesengula mu mirembe kuba tebannatuusa kussa mukono
.
Mu ngeri y'emu Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago akkaanyiza n'akulira NEMA okuteekawo akakiiko akaliko abakulembeze mu kibuga okusobola okuttaanya ensonga z'omulubigi nga tebannaddamu kumenya muntu yenna.


#NTVNews #Akawungeezi

For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter   / ntvuganda  
Like our Facebook page   / ntvuganda  

Комментарии

Информация по комментариям в разработке